MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja, alemeddeko ku by’ettaka ly’e Kaazi ly’agamba nti, si lya Bwakabaka bwa Buganda era lirina okuweebwa bannannyinilyo abatuufu.
OMUYIMBI Catherine Kusasira - Maama kabina, bamuwenja asasule obukadde 200 ze yaweebwa ng’atunda emmotoka Pulezidenti Museveni gye yamuwa ng’ate teyalina kugitunda.
BAKYAMPIYONI ba liigi ya babinywera aba SC Villa balumbye Lugazi mu lutalo lw’okwesogga ‘quarter’ y’empaka za Stanbic Uganda Cup ...
OMULIRO ogutannategeerekeka kwe gwavudde, gukutte ekizimbe ne gusaanyaawo n'emmotoka bbiri e Kayunga. Bibadde mu Kayunga Central mu kibuga Kayunga, omuliro bwe gukutte ekizimbe kya Mirembe Self Help ...
Kamoga avunaanibwa emisango okuli ogw’okujingirira ebiwandiiko n’akyusa ebyapa by'ettaka e Bukaya Ntebe, okwonoona ebintu by’abantu, okufuna obwannannyini ku ttaka ng'akozesa olukujjukujju n'emirala.
Abaana ba Nekesa be yazaala bannyonnyodde obulumi nnyabwe kitaabwe bw'amuyisaamu ate nga stroke yamukuba takyasobola kubaako kye yeeyamba ng'omuntu n’okwogera takyayogera ...
OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put afalaasidde abazannyi be okulwana okuwangula Mozambique batangaaze emikisa gy’okuzannya World Cup omulundi ogusooka.
ASUMAT Nakaliiri owa Kings High School yafunye obubonero 17 n'asinga banne mu Lukaya Town Council e Kalungu ffiizi abadde aziggya mu kutembeya kkaawa wa mpirivuma.
Essanyu ababbooda lye baba nalyo mu biseera byabwe eby'eddembe bakocezaamu bikoco ...
SSAABAKRISTU w’ekisomesa ky’e Busagazi mu disitulikiti y’e Buikwe, Ronald Bateganya asse mukazi we gw’amaze naye emyaka 25 ng’amulinamu abaana 8.
Ssabawandiisi w'ekibiina Kya NRM Richard Todwong akakasiza nga akakiiko akafuzi ak'ekibiina kya NRM aka CEC akakulirwa ssentebe waabwe pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwekawakanyizza ebyavudde mu ...